EBBALUWA OMUTUUKIRIVU INYANSIYO GYE YAWANDIIKIRA AB’E ROMA

Translated to Luganda by Honoratus Kazibwe and Lawrence Ndiwalana

ENNAMUSA

Inyansiyo, Tewofiro, eri Eklezia eyafuna ekisa mu kitiibwa kya Kitaffe owa wagulu ddala, ne mu Yesu Kristu omwanawe yekka, Ekelezia eyayagalwa era erambikiddwa mu kwagala kw’oyo eyayagala ebintu byonna ebiriwo mu kukkiriza ne mu kwagala kwa Yesu Kristo Katonda waffe, ng’esangibwa mu kitundu ky’e Roma, egwanidde eri Katonda, okuweebwa ekitiibwa, okwagala, okutendereza, ekigwanidde okufuna buli kimu kye yetaaga, egwanidde okuba entukuvu, era nga y’ekulembera mu kwagala, era erina etteeka lya Kristo n’erinnya lya Katonda Kitaffe; mbalamusa mu linnya lya Kristu omwana wa Kitaffe. Eri bonna abassa ekimu mu mubiri ne mu mwoyo eri ebiragirobye byonna, abajjuzidwa enneema ya Katonda, era nga batukuziddwako buli bbala, mbaagaliza essanyu erijjuvu mu Yesu Kristo Katonda waffe.

OMUSIBE WA KRISTU

I.1 Oluvannyuma lw’okusaba eri Katonda, nsobodde okufuna omukisa okulaba abatuukirivu bammwe abaggya, ate nga mpeereddwa n’okusinga ku kye nnasaba. Ng’omusibe mu Kristo Yesu, nsuubira okubalamusa, bw’ekuba nga kwe kwagala kwa Katonda nti ngwanidde okutuukira ddala ku nkomerero. 2 Entandikwa nnyangu ya kutuukiriza, naye nsaba okufuna obusika bwange awatali binziyiza. Ntya wadde omukwano gwammwe okunfuukira ekizibu. Mwe kibanguyira okukola kye mwagala, naye nze kimbeerera kizibu okutuuka eri Katonda bwe muba nga temunneerekereza.

ALTAALI ETEEKEDDWATEEKEDDWA.

II. Saagala nti musiimwe abantu, wabula eri Katonda nga bwemuli abalonde. Nze sirifunayo mukisa mulala nga guno okutuuka ku Katonda, nammwe bwemutyo, wadde lwa kusirika, mwandibadde mufuna omulimo ogukira ku guno. Singa muneerekereza ku lwange nja kufuuka wa Katonda, wabula singa munnoonya, nja kubeerawo okubabuulira. 2 Temwelariikira ku lwange okusinga okuba ekyonziira eri Katonda, okutuuka nga altaali eteekeddwateekeddwa, okuyimbira Kitaffe awamu mu kwagala kwa Yesu Kristo, kubanga Katonda yasiima Omwepisikopi w’e Siria, anaasangibwa wano ng’ava mu buvanjuba ng’ajja mu bugwanjuba. Kirungi okufa eri ensi ku lw’Omukama okusobola okuzuurika mu ye.

OBUKRISTU OKUKYAYIBWA ENSI

III.1 Tewali gwe mwali mukyaye, muyigirizza abalala. Njagala bye mwayigiriza bisigale nga binywevu. 2. Ku lwange kye muba munsabira kyokka, ge maanyi g’omwoyo n’omubiri, bwentyo nneme kwogera bwogezi, naye era njagala, si kuyitibwa kyokka mukristu, wabula okuberera ddala Omukristu. Wabula bwemba nga mu mazima ddala ekyo kyendi, nsobola okuyitibwa ntyo n’olwekyo okubeera omwesigwa ensi ne bw’eba nga tendaba. 3. Ku byonna bye tulabako tekuli kirungi. Katonda waffe Omukama Yezu Kristu, olw’okubeera mu Kitaffe, ye amanyi mu bujjuvu. Ensi okukyawa obukristu, tekyoleka nti obukristu kusendebwasendebwa, wabula kyoleka ekitiibwa n’amanyi g’obukristu.

NDI NGANO YA MUKAMA

IV.1 Mpandiikira Eklezia zonna era nnangirira eri abantu bonna nti nfa nga nneyagalidde ku lwa Katonda, singa nammwe mubeera temunziyizizza. Mbasaba muleme kunkwatirwa kisasaazi kitasaanidde. Mundeke mbeere emmere y’ensolo enkambwe ez’omunsiko, bwentyo anti lye kkubo erintuusa eri Katonda. Ndi ngano ya Mukama ekandiddwa n’amannyo g’ensolo enkambwe okufuuka omugaati omutukuvu ogwa Kristo. 2 Kisingako okusendereza ensolo enkambwe zisobole okunfuukira entaana era zireme okulekawa yadde akatundutundu konna ak’omubiri gwange bwentyo nneme kufuuka mugugu eri omuntu yenna nga nfudde. Olwo nno ndibeerera ddala mugoberezi wa Yezu Kristo, ensi bw’etalilaba mubiri gwange. Munsabire eri Omukama [Yezu Kristo] nsobole okubeera ekyonziira mu ngeri eyo eri Katonda. 3. Sibalagira nga Petero ne Paulo. Bali baali batuume, so nga nze ndi musibe asingiddwa omusango; baalina eddembe kyokka nze n’okuttusa kati ndi muddu. Naye singa mbonaabona nja kuba ku lusegere lwa Kristo (kumpi ne Kristu) era muye ndizuukira n’eddembe. Kati nga ndi musibe njiga obutabaako kye nneegomba [ku bintu by’ensi ebiyita obuyisi].

OKUDDA ERI KRISTU

V.1 Okuva e Siria okutuukira ddala e Roma nnwana n’ensolo enkambwe, ku mazzi ne ku ttaka, ekiro n’emisana, nga nsibiddwako engo kkumi, nga ntulugunyizibwa akabiina k’abaserikale, buli lwe lwebafuna akakisa, beeyongera kw’ononeka. Ku lw’obubi bwabwe nyongera okulwana ne wankubadde, tekitegeeza nti n’olwekyo ntukiridde.’ 2 Nandisanyukidde ensolo enkambwe ezintegekeddwa, era nsaba nti zinnwanire na maddu okummalawo, nange nja kuzisikiriza okundya amangu, era zireme kumpisa ng’abamu ku abo, olw’okutya, tezaabakwatako. Bw’ezinaba nga tezaagadde kunzita, nja kuzisendasenda okukikola. Munsonyiwe mmanyi ekyo ekingwanidde. 3 Kati ntandise okubeera omuyigirizwa (omugoberezi). Wabulewo ekintu kyonna ku birabika oba ebyo ebitalabika ekinkwatirwa obuggya kubanga ntuuse eri Yezu Kristo. Ka gubeere omuliro, omusaalaba, ensolo z’okuttale, ebibonerezo, amagumba agamenyese, okutemebwatemebwa obutundutundu, obulumi bw’omubili; ne bwengwibwako ebiyigganyizo bya sitani byonna: kubanga kye njagala kwe kuzuula (okusisinkana) Kristo.

OKUGOBERERA OKUBONAABONA KWA KRISTU.

VI.1 Siyinza kuganyulwa mu masanyu ga nsi eno yadde mu bwakabaka bw’ensi eno. Okuttibwa ku lwa Yezu kirungi era kikira okufuga amawanga g’ensi eno gonna. Nnoonya oyo eyabafiirira; njagala oyo ey’azuukira ku lwaffe. Buno bwe busika obunnindiridde. 2 Abooluganda munsonyiwe. Muleme kunziyiza kuba mulamu mu bujjuvu, kuba temwendyagadde nfe. Nga waliwo ey’egomba okuba owa Katonda, muleme kumuwayo mu mikono gy’ensi eno. Mundeke nfune ekitangaala ekitukuvu: bwendiba ngenze eyo gy’ali, ndibeera omusajja wa Katanda ddala. 3 Munzikirize nfe era mbonaabone nga Mukama waffe Yezu Kristo. Oyo yenna alina Kristo mu ye, ategeere ekyo kye nneegomba era ankwatirwe ekisa olw’okumanya embeera gyendimu.

OKWAGALA OKUKOMEREDDWA.

8.1 Omulangira w’ensi eno ayagala okwonona n’okutaataganya ekigendererwa kyange eri Katonda. Ku mwenna abali wano, wabulewo amuyamba okukituukiriza; wabula mumbeere ku lusegere, ku ludda lwa Katonda. Temwogera ku Yezu Kristo ate ng’emitima gyammwe gyegomba ensi eno. Mu mmwe muleme kubeeramu bujja. 2 Newankubadde nga mbali kumpi mbegayiridde muleme kumpuliriza. Mugoberere ebyo bye mbawandikidde. Nga nkyali mulamu, mbawandikira nga bwe nnindirira okufa. Okubonaabona kw’omubiri gwange kukomereddwa, sikyalina kwegomba kwa mubiri kubugujja munda mu nze. Mpulira munda yange edoboozi ly’amazzi og’obulamu elikowoola nti: jangu eno ewa Kitaawo. 3. Sisikirizibwa mmere ya kuvunda newankubadde amasanyu g’obulamu buno. Njagala omugaati gwa Katonda, omubiri gwa Yezu Kristo, asibuka mu lunyiriri lwa Daudi, n’okunywa omusaayi gwe kubanga gwe mukwano ogwoolubelera.

MPANDIIKA OKUSINZIIRA KU MAGEZI GA KATONDA.

VIII.1 Sikyayagala kuyisa ng’abantu bwe baagala. Kino kinaasoboka bwe muba nga mukyagadde. Mukyagale bwemutyo musobole okusiimibwa gyali. Nkibasaba mu bigambo bitono ddala. 2 Munzikirize, Yezu Krsito anaabamanyisa nti njoegera mazima; yennyini gwe mumwa ogutaliimu bulimba, Katonda Kitaffe yennyini gweyayogereramu. 3 Munsabire nsobole okumutuukako. Si bawandiikidde nga nze ku lwange, wabula nga Katonda bw’ayagala. Bwe naaba wakubonaabona, olwo muliba munjagaliza bulungi; naye singa ngaanibwa, olwo muliba munkyaye.

OKUSABIRA.

9.1 Mujjukire mu ssaala zamwe okusabira eklezia ali mu Siria, kati erina Katonda ng’Omusumba wayo, mu kifo kyange. Yezu Kristo ajja kugirabirira, nga kw’otadde n’omukwano gwammwe. Naye nze nneegomba okubalibwa ng’omu ku babe, nkwatibwa ensonyi okubalirwa mu babe, kubanga nze asembayo mu bo, era nnazaalibwa ng’obudde tebunnatuuka. Naye nfuna enneema okufuuka ekyo kyendi, singa ntuuka eri Katonda. 3 Mbalamusa n’omwoyo gwange gwonna n’omukwano gw’eklezia zonna ezannyaniriza mu linnya lya Yezu Kristo, naye si ng’omuyise. N’ekelzia ezo zonna ze saasobola kutuukako mu buntu, naye nga bangobereranga okuva mu kibuga ekimu okudda mu kirala [okusobola okundaba n’okumpuliriza].

OKUSIIBULA

X.1 Bino mbibawandiIkidde okuva e Smirne (Smyrna) nga mpita mu b’Efezi. Ndi wamu n’abalala bangi ng’omu ku bo ye Crocus omwagalwa ennyo. 2 Nsuubira nti munaamanya abo bonna abankulembeddemu okuva e Siria okugenda e Roma mu kitiibwa kya Katonda. Mubategeeze nti ndi kumpi. Bonna bagwanidde mu maaso gamwe ne mu ga Katonda: kirungi nti mubalabirira mu byonna.

Mbawandikidde ng’awabula ennaku mwenda okutuuka mu Mutunda (omwezi gw’omwenda). Munywere okutuusa ku nkomerero nga bwe tulindirira Yezu Kristu.