EBBALUWA ERI AB’E SMIRNE

Translated to Luganda by Honoratus Kazibwe and Lawrence Ndiwalana

OMUTUUKIRIVU IGNAZIO OW’E ANTIOCHIA

ENNAMUSA

Ignansyio, Teoforo, eri eklezia wa Katonda Patri n’Omwagalwa Yezu Kristo, eyagirirwa ekisa mu buli nneema, ejjudde okukkiriza n’okwagala, ejjudde buli kirabo kyonna, eyagalwa Katonda era omuli Mwoyo Mutukirivu, e sangibwa e Smirne mu Asia, mbalamusizza nnyo ddala mu mwoyo atasingika ne mu kigambo wa Katonda.

MWEKOMERERE MU MUBIRI NE MU MWOYO KU MUSAALABA GWA KRISTO.

1.1 Ekitiibwa eri Omukama Yezu Kristo eyabasobozesa okubeera abagezi muti. Nkakasa nti mutuukiridde mu kukkiriza okutakyukakyuka, ng’abakomerere mu mubiri ne mu mwoyo ku musaalaba gwa Kristo Yezu, era abakakasidadwa mu kwagala kw’omusayi gwe. Muli bakakafu nti Mukama waffe, mu bw’omuntu ddala asibuka mu lulyo lwa Daudi (laba. Ab’e Roma: 1, 3), mwana wa Katonda ku lw’okwagala n’amaanyi ga Katonda, nga ddala yazaalibwa mbeerera, eyabatizibwa Yowana Omubatiza, bwatyo asobole okutuukiriza obwenkanya bwonna (Laba. Matayo. 3,15). Mu budde bwa Ponzio Pilato ku mulembe gwa kabaka Erode, eyakomererwa n’omubirigwe ku musaalaba, mwe tusibuka ne mu bwa Katondabwe wamu ne mu kubonabonakwe okutukuvu, mwe twazaalibwa olubeerera, ne mu kuzuukirakwe, ng’akabonero (cfr. Yisaaya. 5, 26) k’abatuukirivube n’abo bonna abamukkiririzamu, abayudaya ne bannamawanga, mu mubiri ogumu ogw’ Ekelezia ye.

OMUKAMA, KYAMAZIMA DDALA YABONAABONA ERA N’AZUUKIRA.

II. Omukama yabonaabona nnyo bwatyo, mu ngeri eyo tusobole okulokolebwa. Amazima ddala yabonaabona ate era ye kennyini yazuukirira ddala, naye si nga abatali bakkiriza bwe bagamba, nti ebyo bintu katoole era kwefananyiriza, era yabonaabona mu kwefananyiriza. Kale nga bwe balowooza, kiribatuukako okubeera nga tebalina mibiri era balibeera ng’amasitaani.

OKUZUUKIRA OKW’OMUBIRI

II.1 Nkakasa era nzikiriza nti yazuukiria n’omubirigwe. 2. Bwe yalabikira abaali awamu ne Petero, yabagamba nti: ‘munkwateko era mulabe nti siri muzimu gutalina mubiri’ (Luka. 24, 39). Amangu ago ne bamukwatako era ne bamukkiriza, oluvannyuma lw’okukwata ku mubiri n’omusaayigwe. Okuva olwo, tebaddamu kutya kufa, era bwebatyo ne bakuwangula. 3. Oluvanyuma lw’okuzuukira, yalya era n’anywa nabo, nga ali mu mubiri, ne wankubadde nga mu bw’omwoyo yali kimu ne Patri.

OKUGUMIKIRIZA BYONNA MU KRISTO.

IV.1 Ab’oluganda bino mbibakuuttira, nga mmanyi okukiriza kwammwe. Mwekuume nga mutunula ku lw’emisege egiringa abantu, egitagwanidde si butagyaniriza kyoka, naye bwekiba kisoboka n’obutagisisinkanira ddala; ekigwanidde kyoka kwe kubasabira bakyuke (balokoke), ekintu ekizibu ddala. Naye kiri mu buyinza bwa Yezu Krsito, bulamu bwa baffe. 2. Bw’abeera nga mukama waffe Yezu Kristo teyafa n’azuukira, nange mbeera nga atali mwesimbu. Olwo ku lwaki nnewayo okufa? Eri omuriro, ekiso, n’ensolo enkambwe? Naye ka kubeer okusemberera ekiso ndi kumpi ndi ne Katonda; ne bwembeera mu mikono gy’ensolo enkambwe era nsigala mu mikono gya Katonda, kuanga kino kisoboka mu linya lya Yezu Kristo. Bino byonna mbigumira bwentyo nsobole okubonaabona wamu naye, kubanga oyo eyafuuka omuntu ddala, y’ampa amaanyi.

OKUBONAABONA KWA KRISTO, OKUZUUKIRA KWAFFE

V. 1. Waliwo abamu abamugaana olw’obutamumanya, bwebatyo ne bamulyaamu olukwe. Balwanirira kufa mu kifo kya’amazima, tebakkiririza mu balanzi ne mu tteeka lya Musa, newankubadde mu Vangili yadde mu kubonaabona kwa ssekinnoomu. 2.Naffe batulowooleza mungeri eyo. Kingasaaki bwe wabaawo antendereza naye n’anyomoola Mukama wange, ng’agamba nti teyefuula muntu? Ayogera bwatyo aba amweganidde ddala, era talina bulamu mu ye. 3. Ndaba nga tekingwanidde na kuwandiika mannya g’abo abatali bakkiriza. Sijja kubajjukira okutuusa nga bakkiriza okubonaabona, kubanga kwe kuzuukira kwaffe.

OKWAGALA N’OKUKKIRIZA

VI.1. Wabulewo akkiriza okulimbibwa; yadde ebitonde by’omuggulu, ekitiibwa kya ba malayika, byonna ebirabika n’ebitalabika, bwe batakkiririza mu musaayi gwa Kristo, nabo omusango gujja kubasinga. ‘Asobola okutegeera ategeere’ (Matayo. 19, 12). Obukulu buleme kubaako gwe bwewuliza; okukkiriza n’okwagala bikira byonna, tewali kyegombewa kusinga byo. 2. Mulowoze ku abo abalina endowooza enjawufu ku nneema ya Yezu Kristo eyajja gye tuli,nga baawuka ku nteekateeka ya Katonda. Si bajjumbize mu kwagala eri; bannamwandu, ba mulekwa, yadde abanyigirizibwa mu ngeri ez’enjawulo, abasibe oba abatereeddwa, newankubadde abalumwa enjala oba ennyonta.

MU KWAGALANA MWETUYITA OKUZUUKIRA.

VII, 1. Bali wala wa Ukaristia awamu ne’essaala kubanga tebamanyi nti Ukarisita mubiri gwa Makama waffe Yezu Kristo, eyabonaabona ku lwe’ebibi byaffe era Katonda Patri ku lw’obulungibwe n’amuzuukiza. Zibasanze mwe abagaana ekirabo kya Katonda, balifa ku lunaku olw’okulamulwa. Kyandibadde kirungi singa bassa okwagala mu nkola olwo basobole okuzuukira. 2. Kigwanidde obutabemanyiza n’obutayogera nabo mu lujjudde yadde mu kyama, wabula okugoberera abalanzi era naddala evangili omuli okubonaabona kwa Kristo era n’okuzuukirakwe mwe kwatuukirizibwa. Mwewale enjawukana kubanga mu zo mwe musibuka ebibi.

OKUGOBERERA OMWEPISIKOOPI N’ABAKULEMBEZE B’EDDIINI.

VIII. 1. Nga Yezu Kristo bw’agoberera Patri, mwenna mutyo mugoberere omwepisikoopi n’abasaseredooti ng’abatume; abadyankoni mubawe ekitiibwa ng’etteeka lya Katonda. Tewali yenna ayinza kubaako ky’akola nga takwatagana n’Eklezia awatali na lukusa lwa Mwepisikopi. Ukaristia etambiddwa Omwepisikopi oba omutume we, mugitwale nga kya mazima. 2. Ewali Omwepisikopi, wewaba wabeera n’ekibiina ky’abakkiriza, nga bwekiri nti ewali Yezu Kristo we wali n’Ekelezia Katolika. Awatali Mwepisikopi tekikkirizibwa kubatiza yadde okukuza ekijjulo (kubanga waba tewali Eklezia); ekyo kyokka ye ky’abeera akakasizza kye kisiimibwa eri Katonda, kubanga mu ngeri eyo buli kimu ekikolebwa kiba kituufu era nga kya mazima.

OKUWA OMWEPISIKOPI EKITIIBWA.

IX,1. Kya magezi okwekuba mu mutima [okusalawo] nga tukyalina obudde ne tudda eri Katonda. Kirungi okumanya Katonda n’Omwepisikopi. Oyo assaamu omwepisikopi ekitiibwa, naye yennyini Katonda amuwa ekitiibwa. Oyo yenna abaako ky’akola ng’akikwese Omwepisikopiwe, abeera aweereza sitani. 2. Byonna mubikole mu kwagala, kubanga musaanidde. Mu byonna, munkubagizza era nammwe Yezu Kristo abakubagiza. Mwanjagala bwe nabaawo mu buntu ne bwe ssaabangawo. Mbakwasizza omukama, bwemutyo musobole okutuuka ku nkomerero nga mugumira byonna mu ye.

OMWOYO GWANGE N’ENJEGERE ZANGE

X,1. Mukoze bulungi okwaniriza Filone awamu ne Agatopo abamperekera mu kigambo ky’Omukama ng’abadyankoni mu Kristu Katonda. Bombi beebaza Omukama ku lwamwe, kubanga mubalabiridde mu buli mbera yonna. Tewali kye mulifiirwa. Mukukyukakyuka kw’obulamu ndi nanmwe, ekitiibwa kyange n’enjegere zange bye mutalengezza (obutassaamu kitiibwa) era byemutakwatiddwa nsonyi. N’olwekyo, mu mmwe wabulewo akwatibwa ensonyi okukkiriza okutuukiridde,Yesu Kristu.

ESSANYU LIBEERE ERI EKLEZIA YE ANTIOCHIA EYAAKAFUNA EDDEMBE.

XI.1. Essaala yamwe etuuse eri Eklezia ye Antiochia mu Siria, gyendi mu busibe n’enjegere ezomuwendo eri Katonda, mbalamusizza mwenna, newankubadde nga sigwanidde ng’asemberayo ddala mu mmwe. Ku lw’okwagalakwe nnasaanyizibwa, naye sikulwange[si kubanga ntukiridde], wabula lwa nneema ya Katonda, gye nsaba okuweebwa mu bujjuvu n’okusobola okugituukako olw’essaala zamwe. 2. Omulimu gwammwe okuba nga gutuukiridde mu nsi ne mu ggulu, kigwanidde nti Eklezia yammwe, ku lw’ekitiibwa kya Katonda, eronde omubaka wa Katonda okugenda mu Siria okuyozaayoza abakristo, kubanga bazzeemu okufuna eddembe n’ekitiibwa kyabwe, ate era obukulembeze n’ekibiina kyabwe bizzeemu okuzimbibwa. 3. Kindabikira ng’ekikolwa ekirungi omu ku mmwe bw’atumibwa n’ebbaluwa okusanyuka wamu nabo ku lw’eddembe Omukama ly’abawadde [ly’abagiridde], nga kwe mugasse n’essaala zammwe. Mulowoze ebintu ebituukiridde [ebirungi], olwo nammwe lwe munatuukirira [munaaba abalungi]. Katonda mweteefuteefu okuyamba abo bonna abaagala okukola obulungi [ekirungi].

OKUSIIBULA

XII,1. Mbalamusizza n’okwagala kungi okuva eri abooluganda mu Troade, gye nsinzidde okubawandiikira nga mpita mu Burro, gwe mwansidikira awamu nab’Efesi, baganda bammwe, abanyambye mu byonna. Kirungi n’abalala okukola nga bo kubanga kya kulabirako kirungi mu kuweereza Katonda. Enneema eribaddizibwawo mu byonna. 2. Nnamusiza Owepisikopi wamwe omusiige wa Katonda, abasaseredoti abatiibwa, abadyankoni baweereza bannange, kinnoomu, na bonna awamu mu linnya lya Yezu Kristo, mu mubirigwe ne mu musaayigwe, mu kubonaabonakwe ne mu kuzuukiriza kw’omubiri n’omwoyogwe, nga ndi kimu ne Katonda awamu nammwe mwena. Mbaagaliza enneema, ekisa, eddembe n’obugumiikiriza emirembe gyonna.

XIII, 1. Nnamusa amaka ga baganda bange bonna, wamu n’abaana ne bakyala babwe, n’mbeerera abayitibwa bannamwandu. Mubeere bagumu mu maanyi ga Mwoyo. Filone ali nange naye abalamusizza. 2. Nnamusa ab’ennyumba ya Tavia, be nsaba banyiikire mu kukkiriza, ne mu kwagala kw’omwoyo n’omubiri. Nnamusa Alce, omwagalwa ennyo; Dafno ne munne Eutecno abasukkulumu ennyo n’abo bonna abayitibwa n’amannya gabwe. Mubeere bulungi mu nneema ya Katanda.