EBALUWA YA IGNAZIO OWE ANTIOCHIA ERI ABAKRISTU B’E FILADELFIA.

Translated to Luganda by Honoratus Kazibwe and Lawrence Ndiwalana

OKULAMUSA.

Ignazio Teoforo; eri Ekelezia wa Katonda Kitaffe n’eya Mukama waffe Yezu Kristo eri mu Filadelfia mu Asia, eyagirirwa ekisa era eyasiigibwa wamu ne Katonda, era asanyukira mu buli kiseera mu kubonaabona n’okuzuukira kw’Omukama, era amanyi obulungi ekisa kye; mbalamusa mu musaayi gwa Kristo. Nfuna essanyu ery’ensusso era eritaggwaawo naddala abakristu bwe babeera nga bassa kimu n’omusumba wabwe, wamu n’abasaseredoti era wamu n’abadyankoni abalonde mu Yezu Kristo, ku lw’okwagala n’okusiima kwe, beyakakasa ne Mwoyo we Omutukuvu.

KU LWAKI OKWAGALA

I,1. Mmanyi nti omwepisikopi wammwe yakkiriza omulimo gw’obusumba ku lw’okuweereza ekibiina naye si kululwe, si kulw’abantu, oba lwa kitibwa butibwa, wabula mu kwagala kwa Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yezu Kristo. Mwesiimisa nnyo olw’obumalirivu bwe; obusirifu bwe bulina amaanyi okukira kw’abo aboogera ebitalimu.

2. Mwangu mu kukwata amateeka, ng’akabani kundogo. N’olwekyo omwoyo gwange gugulumiza omwoyo gwoli, eyesingira Omukama, ng’amanyi nti mulungi era gutukiridde, atakyukakyuka era omukakamu mu bulungi bwa Katonda omulamu.

OKWEWALE ENJAWUKANA.

II,1. Ng’abaana b’ekitangala [ab’amazima] mwewale enjawukana n’enjigiriza enkyamu. Ng’endiga, mugoberere Omusumba wonna w’ali. 2. Kubanga emisege mingi, egirabika ng’endiga, gisendekerza bangi okuva ku kkubo ly’Omukama. Abo tebaliba na kifo mu mmwe abassa ekimu.

EMITI EMIBI.

III,1. Mwewale emitti emibi Yezu Kristo gy’ataasiga, kubanga si bimera bya Kitaffe Katonda. 2. Sisanze njawukana wakati wammwe, wabula obutuufu [okwekkaanya, okulondebwa]. Buli bantu bonna nga ba Katonda n’aba Mukama waffe Yezu Kristo, bonna wamu era bali n’omwepisikopi. Abo bonna abeenenya ne bayingira mu kkusa ekimu okw’ekelezia, baliba ba Katonda kubanga bayisa nga Yezu Kristo bw’ayagala. 3. Baganda bange muleke kukkiriza kulimbibwalimbibwa. Bwewabeerawo omuntu yenna agoberera ebiwayi eby’enjawulo talisikira bwakabaka bwa Katonda. Bwewabeerawo omuntu yenna ageberera enjigiriza enkyamu ezikontana n’enjigiriza y’Ekelezia, aba teyetaba mu kukubonabona kwa Kristo.

OMUBIRI GWA KRISTO GULI GUMU.

IV. Munyiikire okwetaba mu Ukaristia emu. Omuburi gwa Mukama waffe Yezu Kristo guli gumu era n’ekikompe ky’omusaayi gwe ekitugatta kiri kimu. Emu ye alutare nga n’omusumba bwali ekimu n’aba Saceredotti era n’abadyankoni baweereza banange. Bwe munaakola mutyo, olwo munaabeera mukoze nga Katonda bw’ayagala.

TWAGALE ABALANZI.

V,1. Ab’oluganda, nnyina omukwano mungi gyemuli era n’essanyu lingi kyenva nfuba okubanyweza. Si nze wabula Yezu Kristo, mu ye ndi musibe olw’okutya okungi, kubanga situkiridde. Naye essaala yamwe mu Katonda ejja kunsobozesa okutuukirira bwentyo olw’ekisa kya Katonda nfune obusika obutaggwaawo, nga nneyunira evangiri, omubiri gwa Kristo, abatuume awamu ne mubasaceredoti b’Ekelezia. 2. Twagale abalanzi kubanga nabo balangirira e Vangiri era mu Kristo mw’ebasuubira era bamulindirira, era bwe bamukkiriza, balokolebwa. Nga bali kimu ne Kristo, batuukirivu abagwanidde okwagala n’okwegombebwa, bafuna okujulirwa kwa Kristo era babalibwa wamu n’amawulire amalungi eg’Evangiri n’okusuubira okw’awamu.

MWEWALE OBUKUGU OBUBBIBBI N’OBULIMBA BW’ENSI.

VI,1. Bwe wabawo omuntu yena abayigiriza ekiyudaya temumuwuliriza. Okuwuliriza Obukristu okuva kumutayirire kisinga ku kuwuliriza Obuyudaya okuva ku atali mutayirire. Ku bombi bwe wataba ayogera ku Yezu Cristo, gyendi baba batemagana ng’entaana okuwandiikiddwa amannya g’abantu. 2. Mwewale obukugu [empisa/ enkola] obubbi n’obulimba bw’omulangira w’ekyasa kino. Mulemenga okukkiriza okunyigiribwa kw’omwoyo gwe okukendeeza okwagala kwammwe, wabula musse kimu mwenna n’omutima gumu. 3. Nneebaza Katonda wange kubanga omutima gwange mukkakkamu gyemuli, era tewali ayinza kunnumiriza mu lujjudde oba mukyama nti mbabeeredde mugugu. Nnamusiza abo bonna bemmenye abetangidde eby’okulabilako ebibi.

OKUKUUMA OMWOYO NG’EKIGGWA KYA KA KATONDA.

VII,1. Bwe wabeeraawo abasalawo okunnimba mu mubiri, bajjukire nti Mwoyo wa Katonda talimbibwa. Ye yekka amanyi gy’ava ne gy’alaga era abikkula ebyaama. Bwe nnali mu mmwe nnabayitanga n’edoboozi lya waggulu, n’edoboozi lya Katonda: mubeere kimu n’omusumba, abasasaseredoti n’abadyankoni. Abamu bateebereza nti nnayogera bwentyo kubanga nnali manyi enjawukana ezaali zigenda okubeerawo; naye oyo ku lwerinya lye nga ndimusibe, ye mujulizi wange nti sirina kye nnamanya okuva ku muntu yenna. 2. Yali mwoyo ye yabimbikkulira ng’agamba nti: temubeerako kye mukola awatali musumba, mukuume omubiri gwamwe ng’ekigwa kya Katonda, mwagalenga okussa ekimu, mwewale enjawukana, mubeere nga Kristo nga naye bwali nga Kitawe.

Nnakola omulimu gwange n’gomuntu akola n’amanyi oba n’obusobezibwe bwona. Ewali engawukana n’obukyayi tewaba Katonda. Omukama asonyiwa eyenenya, bwe yenenya kulw’obumu bwa Katonda, ne ku lw’omusumba. Nesiga ennema ya Yezu Kristo ebanunula okuva mu buli muteggo (busibe bonna).

EBYA WANDIKIBWA YE YEZU KRISTO.

Nze nkola ekyo ekyali munze nga omuntu akolerera obumu. Era awali okweyawulamu ne ntalo, tewali Katonda. Omukama asonyiwa oyo eyenenya, bwewenenya kulwobumu mu Katonda n’akakiko akakulo ak’Omusumba. Nesiga ekisa kyamukama waffe YezuKristu alibanunura okuva mubuli mutego. Mbakutira obutakola kintu kyona n’omwoyo gw’obuwakanyi wabula nga musinzira kungigiriza ya Kristu. Nawulira abamua abagambanga nti; bwesimusnga mubyawandikibwa oba mu vangili, nze sikiriza. Nze nabadamu abo nti kyawandikibwa era abo mbagamba nti kino kya kugezesa. Kulwange, ebyawnadikibwa ye Yezu, ebyawandikibwa ebyange ebitakyuka musalaba gwe, okufa kwe n’okuzukira era n’okukiriza nti biva gyali, mukino kulwokubera esaala zamwe, njagal nkakasibwe.

EVANGELO BWE BULAMU OBUTAGWAWO.

IX, 1. Abasaseredoti nabo bakitibwa, okusingira ddala Omusaseredoti Omukulu omukumi w’ekitukuvu ky’abatukirivu, ye yekka amanyi ebyama bya Katonda, kubanga ye mulyango gwa Katonda omuyitwa Ibramo, Izaco, Yakobo, abalanzi, abatume n’Ekelezia. Bino byonna ku lw’obumu bwa Katonda. 2Wabula evangelo erina ekye njawulo, amajja g’omulokozi, Mukama waffe Yezu Kristo, okubonabona n’okuzukira kwe. Abalanzi abagalwa gwe balangirira nga, naye e vangelo bw’obulamu obutukiridde [obutagwawo] obutakyalimu kuvunda. Ebyo byonna birungi singa mu bikuma mu kwagala.

EDDEMBE LY’EKELZIA YE ANTIOCHIA MU SIRIA.

X, 1.Kulw’essala zamwe ne ku lw’okwagala kwe mulina mu Yezu Kristo n’attegeezibwa nti ekelezia yo mu Antiochia eri mu ddembe. Kibasanidde, nga ekelezia ya Katonda, okulonda omudyakoni agenda okuweereza Katonda: musanyikire an’abalondedwa era mugulumize erinnya lye.2 Oyo yena agwanidde obuweereza obwo, yesimye mu Yezu Kristo era nawe mujja kufuna ekitibwa. Tekiyinza butasoboka bwe munaba nga mwagadde mu linya lya Katonda, kubanga n’ekelzia ezibetoledde zijja kusindiika n’abasumba, awamu n’abasaserdoti n’abadyakoni.

OKUSIBULA

XI, 1. Filone omudyakoni we Cilicia, omusajja akakasidwa, anyambako mu kigambo kya Katonda wamu ne Reo Agatopodo, omusajja eyalondebwa era nga yawayo obulamu bwe, amperekedde okuva e Siria. Bombi babajjulira mu mbeera y’obulamu bwabwe era n’ebbaza Katonda kulwamwe kubanga mwabaniriza, nawe mutyo Kristo bw’abaniriza. Wabula abo, abagaana okubaniriza basobola okusonyiibwa mu kwagala kwa Yezu Kristo. 2. Ab’oluganda e Troade ba balamusa n’okwagala kungi, gye nsizidde okubawanidikira nga mpita mu Burro eyansidikibwa ab’Efesi wamu nabe Smirnesi, okumpesa ekitibwa. Omukama Yezu Kristo gwe basuubiramu alibawa empeera mu mubiri ne mu mwoyo, mu kukiriza, mu kwagala ne mu kusa ekimu. Mbasibula, mubere bulungi mu Kristo Yezu esuubi lya ffe.